2 Kings 10:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama n'agamba Yewu nti: “Kubanga okoze bulungi n'otuukiriza ekituufu mu maaso gange, n'okola ennyumba ya Akabu byonna bye mbadde nteesa okugikola, abaana bo bajja kutuula ku nnamulondo ya Yisirayeli okutuusa ku zzadde eryokuna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Yeeku nti, “Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yeeku nti Nga bw'okoze obulungi bye nsiima, n'otuukirizza ku b'ennyumba ya Akabu byonna bye n'ayagala bakolebweko, ab'ezzadde lyo okutuusa ku bannakana balituula ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yeehu nti: “Nga bw'okoze obulungi bye nsiima, n'otuukiriza ku b'ennyumba ya Ahabu byonna bye nayagala bakolebweko, ab'ezzadde lyo okutuusa ku bannakana balituula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yeeku nti Kubanga okoze bulungi ng'otuukirizza ebiri mu maaso gange ebirungi, n'okola ennyumba ya Akabu nga byonna bwe biri ebyali mu mutima gwange, batabani bo bannakana kyebaliva batuula ku ntebe ya Isiraeri.