2 Kings 10:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyoka Yewu teyeekuuma kutuukiriza tteeka lya Mukama Katonda wa Yisirayeli na mutima gwe gwonna, kubanga teyava ku bibi bya Yerobowamu bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yeeku n’atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo ery’ebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yeeku n'atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isiraeri n'omutima gwe gwonna; teyava mu bibi bya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yeehu n'atassaayo mwoyo kukoleranga ku mateeka ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'omutima gwe gwonna, n'asigala ng'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu bye yakola n'aleetera Yisirayeli okwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yeeku n'atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isiraeri n'omutima gwe gwonna; teyava mu bibi bya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri.