2 Kings 10:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo Omukama n'asooka okutema ku Yisirayeli. Kazayeli n'abawangula mu bitundu byabwe byonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Mukama n’atandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri n’abawangula ng’atandikira
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Mukama n'atandika okukendeeza Isiraeri: Kazayeeri kabaka w'Abasuuli n'awangula ebitundu bya Isiraeri byonna eby'okunsalo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, Mukama n'atandika okukendeeza ku nsi ya Yisirayeli: Hazayeeli kabaka wa Siriya n'awangula ekitundu kya Yisirayeli kyonna eky'oku nsalo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Mukama n'atanula okukendeeza Isiraeri: Kazayeeri n'abakubira mu nsalo zonna eza Isiraeri;