2 Kings 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamutya nnyo nnyo; ne bagamba nti: “Bakabaka ababiri we bataasobolera kumugumira, ffe tunaasobola tutya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekyo ne bakitya nnyo, ne boogera nti, “Obanga bakabaka ababiri tebaayinza kumwesimbamu, ffe tunaayinza tutya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baasoma ebbaluwa eyo, ne batya nnyo, ne bagamba nti Bakabaka abo ababiri Yekolaamu ne Akaziya we batasobolera kumulwanyisa ffe tunasobola tutya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baasoma ebbaluwa eyo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Bakabaka abo ababiri Yehoraamu ne Ahaaziya we bataasoboledde kumwaŋŋanga, ffe tunaasobola tutya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne batya nnyo ne boogera nti Laba, bakabaka abo ababiri tebaayimirira mu maaso ge: kale ffe tunaayimirira tutya?