2 Kings 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basindika ewa Yewu katikkiro w'olubiri, omukulu w'ekibuga, abakadde n'abakuza b'abaana, ne bagamba nti: “Tuli baweereza bo; kyonna ky'onoolagira tujja kukikola. Tetujja kussaawo kabaka; ggwe kyonna ky'oyagala ky'oba okola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo eyavunaanyizibwanga ebyolubiri, n’omukulembeze ow’ekibuga, n’abakuza ab’abaana ne baweereza obubaka eri Yeeku nti, “Ffe tuli baddu bo era tunaakola byonna by’onootulagira. Tetujja kufuula muntu n’omu kabaka; gw’oba okola ky’olowooza nga kye kisinga obulungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo abaalera abantu b'omunnyumba ya Akabu ne baatumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunaakola byonna by'onootulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: kola kyonna ggwe ky'onoosiima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo akulira ab'omu lubiri, n'omukulu w'ekibuga, n'abakungu, n'abakuza, ne batumira Yeehu nga bagamba nti: “Tuli baweereza bo, era tujja kukola byonna by'onootulagira. Tetujja kubaako n'omu gwe tufuula kabaka. Ggwe kola kyonna ky'osiima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo abaalera abaana, ne batumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunaakola byonna by'onootulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: okolanga ekinaaba ekirungi mu maaso go.