2 Kings 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abawandiikirayo ebbaluwa eyookubiri ng'esoma nti: “Oba muli bange n'okumpulira nga mujja kumpulira, mukwate emitwe gy'abasajja batabani ba mukama wammwe, mujje gye ndi enkya mu Yezureeli ku ssaawa ng'eno.” Batabani ba kabaka, abasajja nsanvu, baabeeranga wa bakuza baabwe, abaali abantu abamanyifu mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku n’abawandiikira ebbaluwa eyookubiri ng’agamba nti, “Obanga muli ku lwange era nga muŋŋondera, mutemeeko emitwe gy’abatabani ba mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri, mugintuseeko enkya mu kiseera nga kino.” Abalangira ensanvu baabeeranga n’abakuza baabwe abaali abaami abakulu mu kibuga ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku n'abawandiikira ebbaluwa endala ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutemeko emitwe gyabo mu nnyumba ya mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri enkya obudde nga buno. Awo abantu b'omu nnyumba ya kabaka nsanvu (70) baali n'abakulu b'ekibuga abaabalera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'abawandiikira ebbaluwa endala ng'agamba nti: “Oba nga muli ku ludda lwange, era nga mukkirizza okuba abawulize gye ndi, mutemeko emitwe batabani ba mukama wammwe ne bazzukulu be ab'obulenzi, mugindeetere e Yezireeli enkya mu budde nga buno.” Batabani ba kabaka Ahabu wamu ne bazzukulu be ensanvu baali n'abakulembeze b'omu kibuga abaabalabiriranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abawandiikira ebbaluwa omulundi ogw'okubiri ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutwale emitwe gy'abasajja batabani ba mukama wammwe, mujje gye ndi e Yezuleeri enkya bwe buliba nga kampegaano. Awo batabani ba kabaka abantu nsanvu baali n'abakulu b'ekibuga abaabalera.