2 Kings 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubaka n'ajja n'ategeeza kabaka nti: “Baleese emitwe gya batabani ba kabaka.” N'abagamba nti: “Mugituume entuumu bbiri eri ku muzigo gwa wankaaki w'ekibuga okutuusa enkya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubaka n’agenda n’agamba Yeeku nti, “Emitwe gy’abalangira bagireese.” Yeeku n’alagira nti, “Mugituume entuumo bbiri ku mulyango gwa wankaaki okutuusa enkya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubaka n'ajja n'abuulira Yekku nti Baleese emitwe gya batabani ba kabaka. Yeeku n'alagira nti Mugituume entuumo bbiri awayingirirwa mu wankaaki okutuusa enkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubaka n'ajja n'ategeeza Yeehu nti: “Baleese emitwe gy'abalangira.” Yeehu n'alagira nti: “Mugituume entuumu bbiri ku wankaaki w'ekibuga, gibeere awo okutuusa enkya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubaka n'ajja n'amubuulira nti Baleese emitwe gya batabani ba kabaka. N'ayogera nti Mugituume entuumo bbiri awayingirirwa mu wankaaki okutuusa enkya.