2 Kings 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya, Yewu n'afuluma, n'ayimirira n'agamba abantu bonna nti: “Mmwe temuliiko musango; nze neekobera mukama wange ne mmutta; naye ani yasse bano bonna?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeku n’afuluma, n’ayimirira mu maaso g’abantu bonna n’ayogera nti, “Mmwe temuliiko musango, era nze nasalira mukama wange olukwe ne mutta, naye ani asse bano bonna?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka enkeera Yeeku n'afuluma n'ayimirira ku wankaaki we kibuga, n'agamba abantu bonna nti Mmwe temuliiko musango: nze nnakola olukwe nnenzitta mukama wange Yolaamu: naye ani yasse bano bonna?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera ku makya, n'afuluma n'ayimirira ebweru w'ekibuga, n'agamba abantu bonna abaali awo nti: “Mmwe temuliiko musango. Nze nakola olukwe ne nzita mukama wange. Naye ani yasse bano bonna?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya n'afuluma n'ayimirira n'agamba abantu bonna nti Mmwe muli batuukirivu: laba, neekobaana mukama wange ne mmutta: naye ani asse bano bonna?