2 Kings 11:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ataliya, nnyina wa Akaziya, yalaba mutabani we afudde, n'asituka asaanyeewo ezzadde lya kabaka lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba mutabani we ng’afudde, n’atandika okusaanyaawo olulyo olulangira lwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'asituka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ataliya nnyina Kabaka Ahaaziya bwe yalaba nga mutabani we attiddwa, n'asituka, n'azikiriza bonna ab'olulyo olulangira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka.