2 Kings 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagabe b'ebikumi n'abawa amafumu n'engabo ebyabanga ebya kabaka Dawudi ebyabanga mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona n’awa abaduumizi amafumu n’engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu yeekaalu ya Mukama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoyaada kabona n'awa abaduumizi b'ekikumi kikumi amafumu n'engabo ebya Kabaka Dawudi, ebyali mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona n'abawa abaami b'ebikumi amafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Mukama.