2 Kings 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'afulumya mutabani wa kabaka, n'amutikkira engule, n'amuwa n'ekitabo ky'Endagaano, ne bamulangirira ku bwakabaka, ne baamusiiga omuzigo, abantu ne bakuba mu ngalo, ne bayoogaana nti: “Kabaka awangaale!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaada n’afulumya mutabani wa kabaka, n’amutikkira engule, n’amuwa n’endagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. N’afukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka; ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoyaada n'afulumya omulangira, n'amutikkira engule ey'obwakabaka, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu Amateeka. Yowaasi ne bamufukako omuzigo, ne bamufuula kabaka, ne bakuba mu ngalo nga bwe bagamba nti: “Kabaka awangaale!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n’amuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka ne bamufukako amafuta; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu.