2 Kings 11:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, nga ku kabaka ono ayimiridde kumpi n'empagi, ng'empisa bwe yabanga, abagabe n'abantu nga bamuyimiridde awo ko n'abafuuwa amakondeere, abantu bonna ab'omu ggwanga nga basanyuka, bafuuwa amakondeere. Ataliya n'ayuza ebyambalo bye, n'aleekaana nti: “ Luno lukwe! Luno lukwe!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ng’empisa bwe yabanga, n’abaami n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, n’abantu bonna ab’omu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakkondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Mundiddemu olukwe! Mundiddemu olukwe!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatuukayo bw'ati, n'alaba kabaka gwe baali baakateekako, ng'ayimiridde awali empagi, awayimirirwa kabaka ng'empisa bwe yali, ng'abakungu n'abafuuyi b'amakondeere bamuli kumpi. Ne bannansi bonna baali basanyuka era nga bafuuwa amakondeere. Ataliya n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, nga bw'agamba nti: “Mundiddemu olukwe! Mundiddemu olukwe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Bujeemu, bujeemu.