2 Kings 11:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada kabona n'alagira abagabe b'ekikumi, n'abagamba nti: “Mumufulumye mumuggye mu nnyiriri; buli yenna anaamugoberera mumutte n'ekitala.” Anti kabona yali agambye nti: “Tattirwa mu Kiggwa ky'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago Yekoyaada kabona n’alagira abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, abaali bakulira eggye nti, “Mumufulumye wakati w’ennyiriri, na buli amugoberera mumutte n’ekitala.” Kabona yali agambye nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyaada kabona teyayagala Asaliya kuttirwa mu bitundu bya Yeekaalu, kyeyava alagira abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi nti: Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri z'abaserikale. Buli anaamugoberera ng'agezaako okumutaasa, mumutte.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyaada kabona teyayagala Ataliya kuttirwa mu bitundu bya Ssinzizo, kyeyava alagira abaduumizi b'abaserikale ekikuumi kikumi nti: “Mumufulumye nga mumuyisa mu nnyiriri z'abaserikale. Buli anaamugoberera ng'agezaako okumutaasa, mumutte.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaada kabona n'alagira abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera mumutte n'ekitala: kubanga kabona yayogera nti Aleme okuttirwa mu nnyumba ya Mukama.