2 Kings 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada n'akola endagaano n'Omukama ne kabaka n'abantu nti banaabeeranga bantu ba Mukama. Era yakola endagaano n'abantu ne kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaada n’akola endagaano ne Mukama, ne kabaka n’abantu, nti banaabeera abantu ba Mukama, era n’akola n’endagaano ne kabaka n’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyaada kabona n'akkirizisa kabaka n'abantu, okukola endagaano ne Mukama, ekakasa nti banaabanga bantu ba Mukama, era n'endagaano ekakasa nti wanaabangawo enkolagana ennungi wakati wa kabaka n'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyaada kabona n'akkirizisa kabaka n'abantu, okukola endagaano ne Mukama, ekakasa nti banaabanga bantu ba Mukama, era n'endagaano ekakasa nti wanaabangawo enkolagana ennungi wakati wa kabaka n'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano eri Mukama ne kabaka n'abantu, babeere abantu ba Mukama; era eri kabaka n'abantu.