2 Kings 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ab'omu ggwanga ne bayiikira ekiggwa kya Baali, ne bakiyiwa ku ttaka; baamenyaamenya obulere emyaliiro n'ebifaananyi bye, ne Mattani kabona wa Baali ne bamuttira mu maaso g'emyaliiro. Kabona n'assa abakuumi ku Kiggwa ky'Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ab’omu nsi ne bagenda ku ssabo lya Baali ne balimenyaamenya; ne bamenyaamenya ebyoto n’ebifaananyi, era ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto ebyo. Yekoyaada kabona n’ateekawo abakuumi ku yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu ssabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. Awo Yekoyaada kabona n'assaawo abaami ab'oku nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ab'omu ggwanga ne bayingira mu ssabo lya Baali, ne balimenyaamenya, ne bamenyerawo ddala alutaari ze n'ebifaananyi bye. Mattani kabona we ne bamuttira mu maaso ga zaalutaari. Yehoyaada kabona n'assaawo abakuumi okukuumanga Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu nnyumba ya Baali, ne bagimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. Awo kabona n'assaawo abaami ab'oku nnyumba ya Mukama.