2 Kings 11:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atwala abagabe b'ebikumi, Abakari, abakuumi n'abantu bonna ab'omu ggwanga ne baggyayo kabaka mu Kiggwa ky'Omukama, ne bamutwala mu lubiri nga bayitira mu mulyango gw'abakuumi. Kabaka n'atuula ku nnamulondo ya bakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’alaga n’abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi, n’Abakali, n’abakuumi, n’abantu bonna ab’omu nsi ku yeekaalu, n’aggyayo kabaka mu yeekaalu ya Mukama n’amutwala mu lubiri ng’ayita mu mulyango ogw’abakuumi. Kabaka n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atwala abaami b'ebikumi n'Abakali n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bamufulumya, ne bamuyisa mu kkubo ery'omu mulyango gw'abambowa okumutwala mu lubiri lwa kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ye, n'abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, n'abakuumi b'olubiri, ne bannansi bonna, ne baggya kabaka mu Ssinzizo ne bamutwala mu lubiri nga bayita mu Mulyango gw'Abakuumi, n'atuula ku ntebe y'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atwala abaami b'ebikumi n'Abakali, n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango gw'abambowa eri ennyumba ya kabaka.