2 Kings 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yoseba muwala wa kabaka Yoramu, mwannyina wa Akaziya, yakwata Yowasi mutabani wa Akaziya n'amubbayo mu baana ba kabaka abaali bagenda okuttibwa. Yamussa mu kisenge ekisulwamu wamu n'omujjanjabi we, ne bamukweka Ataliya. Bw'atyo n'atattibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omumbejja Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n’abba Yekoyaasi n’amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’abateeka ye n’omukuza we mu kisenge ekimu ng’abakweka Asaliya, era Yekoyaasi n’atattibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'omulezi we n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amubba n'amukweka mu kisenge ekisuulwamu mu Yeekaalu; Asaliya aleme okumutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yehoseba muwala wa Kabaka Yoraamu era mwannyina Ahaaziya, n'awonyaawo mu bubba Yowaasi omu ku batabani ba Ahaaziya, ng'amuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n'amukweka wamu n'omulezi we, mu kisenge ekisulwamu, bw'atyo n'amuwonya okuttibwa Ataliya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n’amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, ye n'omulezi we n'abateeka mu kisenge eky'okusulamu; ne bamukweka Asaliya, aleme okuttibwa.