2 Kings 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna mu ggwanga ne basanyuka; ekibuga ne kitebenkera, kubanga Ataliya yali amaze okuttibwa n'ekitala mu lubiri lwa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu bonna ab’omu nsi ne bajaguza, n’ekibuga n’ekitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala okumpi n’olubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera nga Asaliya amazze okuttibwa: Asaliya yattibwa n'ekitala okumpi n'olubiri lwa kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bannansi bonna ne basanyuka, ekibuga ne kitereera, nga Ataliya amaze okuttibwa. Ataliya yattirwa mu lubiri lwa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne battira Asaliya n'ekitala awali ennyumba ya kabaka.