2 Kings 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwomusanvu Yoyada n'atumya abagabe b'ekikumi Abakari n'abakuumi, n'abayingiza gy'ali mu kiggwa ky'Omukama. Yakola nabo endagaano, n'abalayiza mu Kiggwa ky'Omukama, n'alyoka abalaga mutabani wa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’atumya abaduumizi ab’ebibinja by’ekikumi, ab’oku Bakali n’abakuumi, ne babaleeta gy’ali mu yeekaalu ya Mukama. N’alagaana nabo endagaano, n’abalayiriza mu yeekaalu ya Mukama, n’oluvannyuma n’abalaga mutabani wa kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada n'atumya abaami b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagaana nabo endagaano n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu mwaka ogw'omusanvu, Yehoyaada kabona n'atumya abaduumizi b'ekikumi kikumi eky'abakuumi ba kabaka abayitibwa Abakoriti, n'atumya n'abakulira abakuumi b'olubiri, n'abayita ne bajja gy'ali mu Ssinzizo, n'akola nabo endagaano ng'abalayiza okutuukiriza ky'ategese okukola. N'abanjulira mutabani wa kabaka, Omulangira Yowaasi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada n'atuma n'akima abaami b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagaana nabo endagaano n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka.