2 Kings 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyokusatu ekirala kya kubeera ku mulyango Suuru, ate ekyokusatu ekisembayo kya kubeera ku mulyango oguli emmanju w'abakuumi, nga mukuuma Ekiggwa mu mpalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma Omulyango Suuli, n’ekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma emanju w’omulyango ewabeera abakuumi abakuuma yeekaalu mu mpalo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ekimu eky'okusatu, banaaba ku mulyango Suuli: era n'ekimu eky'okusatu banaaba ku mulyango oguli emabega w'ekifo ky'abakuumi. Bwe mutyo bwe munaakuuma olubiri lwa kabaka, mube olukomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ekimu ekyokusatu, banaaba ku mulyango Suuri, era n'ekimu ekyokusatu banaaba ku mulyango oguli emabega w'ekifo ky'abakuumi. Bwe mutyo bwe munaakuuma olubiri lwa kabaka, mube olukomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango Suuli: n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango ennyuma w'abambowa: bwe mutyo bwe munaaba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba, ne muba lukomera.