2 Kings 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibinja byammwe ebibiri ebyandibadde bimala oluwalo lwabyo ku sabbaato eyo bijja kusigala nga bikuuma Ekiggwa ky'Omukama olw'okubeera kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebibiina byammwe ebibiri ebitatera kukuuma ku ssabbiiti, mwenna mugenda kuvunaanyizibwa okukuuma yeekaalu ya Mukama ku lwa kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ebibinja ebibiri abamazeeko empalo zaabwe ku Ssabbiiti, banaakuuma Yeekaalu nga beetoolodde kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ebibinja ebibiri abamazeeko empalo zaabwe ku Sabbaato, banaakuuma Essinzizo nga beetoolodde kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibiina byammwe ebibiri, bonna abaafuluma ku ssabbiiti, muliba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya Mukama okwetooloola kabaka.