2 Kings 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagabe b'ekikumi ne bakola byonna nga Yoyada kabona bwe yali abalagidde; buli omu n'atwala basajja be, abaali batandika oluwalo lwabwe ku Sabbaato wamu n'abo abaali bamaliriza olwabwe ku olwo, ne bajja ewa Yoyada kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaduumizi ab’ebibinja b’ekikumi ne bakola byonna nga Yekoyaada kabona bwe yalagira, buli omu n’afuna abasajja be, abaali ab’okukola ku ssabbiiti, n’abaali bamaze oluwalo lwabwe, ne bajja eri Yekoyaada kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaami b'ebikumi ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku Ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku Ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyaada kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaduumizi b'ekikumi kikumi ne bakola byonna Yehoyaada kabona bye yalagira: buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku mulimu ku Sabbaato. Ne bajja eri Yehoyaada kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaami b'ebikuni ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyaada kabona.