2 Kings 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi yafuuka kabaka nga wa myaka musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya ow’e Beeruseba, n’atandika okuba kabaka, n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku kabaka wa Isiraeri, Yowaasi n'atandika okufuga; n'afugira emyaka ana (40) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'omusanvu nga Yeehu ye kabaka wa Yisirayeli, Yowaasi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Zibiya ow'e Beruseba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Yeeku Yekoyaasi n'atanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.