2 Kings 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoyada n'addira essanduuku emu n'agisalamu ekituli kungulu n'agissa kumpi n'omwaliiro ku ludda olwa ddyo ng'oyingira mu Kiggwa ky'Omukama. Bakabona abakuumi b'oku mulyango baasuulanga mu ssanduku omwo ssente zonna ezaaleetebwanga mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baalabanga ng’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala n’okuzitereka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baalaba nga mu ssanduuko mulimu feeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajja ne bazibala ze basanze mu nnyumba ya Mukama ne bazitereka mu bisawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baalabanga nga mu ssanduuko muwezeemu ensimbi nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne Ssaabakabona bajjanga ne babala ensimbi ezo ze basanze mu Ssinzizo, ne bazisiba mu bisawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baalaba nga mu bbweta mulimu effeeza nnyingi, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bambuka, ne batereka effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama mu nsawo, ne bazibala.