2 Kings 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baalabanga ssente ziweze nnyingi mu ssanduuku, omuwandiisi wa kabaka ne kabona omukulu nga bajja babala ssente ezaalinga zireeteddwa mu Kiggwa ky'Omukama, nga bazisiba mu nsawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, n’abazimbi abaabulijjo, n’abazimbi b’amayinja, n’abatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Effeeza ezo ezibaliddwa, ne bazikwasa abalabirira ennyumba ya Mukama: ne basasula ababazzi n'abazimbi abaakola emirimu gy'ennyumba ya Mukama,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensimbi ezo ezibaliddwa, ne bazikwasa abo abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo, bano ne basasula ababazzi, n'abazimbi abakola ku Ssinzizo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawa effeeza ezaagerebwa mu mikono gy'abo abaakola emirimu abaalabirira ennyumba ya Mukama: ne baziwyo eri ababazzi n'abazimbi abaakola emirimu gy'ennyumba ya Mukama,