2 Kings 12:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abakomozi b'amayinja, n'abaagaasanga, balyoke bagule emiti n'amayinja gasimibwe olw'okuddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa ky'Omukama, n'okusasula byonna ebyali byetaagibwa ku kuddaabiriza Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebikopo ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli, n'amakondeere, n'ebintu ebirala byonna ebya zaabu oba ebya ffeeza ebikozesebwa mu nnyumba ya Mukama, tebyakolebwako n'effeeza ezo ezaaleetebwa mu nnyumba ya Mukama:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebikopo ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli, n'amakondeere, n'ebintu ebirala byonna ebya zaabu oba ebya ffeeza ebikozesebwa mu Ssinzizo, tebyakolebwako na nsimbi ezo ezaaletebwa mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebikompe ebya ffeeza n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'amakondeere n'ebintu byonna ebya zaabu oba ebintu ebya ffeeza tebyakolerwa nnyumba ya Mukama n'effeeza ezaaletebwa mu nnyumba ya Mukama: