2 Kings 12:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zonna zaweebwanga baffundi, bo ne bazikozesa okuddaabiriza Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abantu be baakwasanga feeza okusasula abakozi tebaabasabanga kunnyonnyola ngeri gye bazikozesezzamu, kubanga abantu abo baazikozesanga na bwesigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abantu be baakwasanga ensimbi okusasula abakozi tebaabasabanga kunnyonnyola ngeri gye bazikozesezzaamu, kubanga abantu abo baazikozesanga na bwesigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tebaabalirira muwendo eri abasajja be baawa effeeza mu mukono gwabwe okubawa abo abaakola emirimu: kubanga baakolanga n'obwesigwa.