2 Kings 12:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssente ezaavanga mu bitone eby'ekitambiro olw'omusango ne mu byonzira olw'ekitambiro olw'ekibi tezaaweerezebwanga mu Kiggwa kya Mukama, kubanga zaabeeranga za bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’alumba ekibuga ky’e Gaasi, n’akiwamba, n’oluvannyuma n’atandika okulumba n’e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajja n'alumba ekibuga Gaasi n'akiwangula: n'akyukira ne Yerusaalemi okukirwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo Hazayeeli kabaka wa Siriya n'alumba Ekibuga Gaati n'akiwangula, n'akyukira ne Yerusaalemu okukirwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ayambuka n'alwana ne Gaasi n'akimenya: Kazayeeri n'asimba amaaso ge okwambuka e Yerusaalemi.