2 Kings 12:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Kazayeli kabaka wa Aramu n'ajja okulumba Gati, n'akiwamba; ate n'akyusa okulumba Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda n’addira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, n’ebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, n’abiggya mu yeekaalu ya Mukama n’abiweereza Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri n’alekayo okulumba Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyaasi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda bye baawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini Yowaasi bye yali awonze, n'ezaabu yenna eyasangibwa mu ggwanika lye nnyumba ya Mukama, era ne mu ly'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka w'e Busuuli, Kazayeeri n'alekayo okulumba Yerusaalemi, n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaasi kabaka wa Buyudaaya, n'addira ebintu byonna Yehosafaati ne Yehoraamu ne Ahaaziya, bajjajjaabe bassekabaka ba Buyudaaya bye baawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini Yowaasi bye yali awonze, ne zaabu yenna eyasangibwa mu ggwanika ly'Essinzizo ne mu ly'olubiri lwa kabaka, n'abiweereza Hazayeeli kabaka wa Siriya, Hazayeeli n'alekayo okulumba Yerusaalemu, n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Yuda n'addira ebintu byonna ebyatukuzibwa, Yekosafaati ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda bye baawonga, n'ebintu bye ye ebyatukuzibwa n'ezaabu yonna eyalabika mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza Kazayeeri kabaka w'e Busuuli: n'ava ku Yerusaalemi.