2 Kings 12:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi kabaka wa Yuda kwe kuggyayo ebintu byonna ebitukuvu bajjajjaabe Yosafati, Yoramu, ne Akaziya, bakabaka ba Yuda, bye baali basinzeeyo, naye yennyini bye yali asinzeeyo, ne zaabu yenna eyasangibwa mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama ne mu lubiri lwa kabaka, n'abiweereza Kazayeli kabaka wa Aramu; Kazayeli kwe kusimbula n'ava ku Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Yowaasi bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?