2 Kings 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwomusanvu ogwa Yewu Yowasi mwe yaliira obwakabaka; yafugira emyaka amakumi ana mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Zibiya, ng'ava Beeriseba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaasi n'akola ebisiimibwa Mukama, ebbanga lyonna Yehoyaada kabona lye yamuyigiririzaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku ze zonna Yekoyaada kabona ze yamuyigirizaamu.