2 Kings 12:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yowasi na byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba ey’e Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu be ne bakola olukwe, ne bamuttira mu nnyumba ey'omu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Miiro, ku kkubo erigenda e Siira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu be ne bakola olukwe, ne bamuttira mu nnyumba ey'omu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo, ku kkubo erigenda e Silla.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu be ne bagolokoka ne beekobaana ne battira Yowaasi awali ennyumba ey'e Miiro ku kkubo eriserengeta e Sirra.