2 Kings 12:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu be beekoba ne bamuttira e Beti-Millo ng'oserengeta e Silla.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. N’afa n’aziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, abaddu be baamufumita n'afa; Yowaasi n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakungu be, Yozakaari mutabani wa Simeyaati, ne Yehozabbaali mutabani wa Someeri, be baamufumita n'akisa omukono. Yowaasi yaziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe, mu kibuga kya Dawudi, mutabani we Amaziya n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, abaddu be baamufumita n'afa; ne bamuziikira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.