2 Kings 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi yakola kituufu mu maaso g'Omukama ennaku zonna, kubanga kabona Yoyada yalinga amuyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, n’abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu beeyongera okuwaayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu tebyaggyibwawo, abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro n'okwoterereza obubaane mu bifo ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawaayo ssaddaaka ne bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu.