2 Kings 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu baasigala batambirira ku bifo ebigulumivu n'okunyookerezaayo obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaasi n’agamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ng’ebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya Mukama, ensimbi ez’omusolo buli muntu z’awaayo, n’ensimbi buli muntu z’awaayo ng’endobolo mu yeekaalu, n’ensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, n’azireeta mu yeekaalu ya Mukama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaasi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ebireetebwa mu nnyumba ya Mukama, ne feeza buli muntu z'agerekerwa okuwa, wamu n'ezo omuntu z'aba yeetemye yekka okuwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaasi n'agamba bakabona nti: “Ensimbi zonna eziva mu bintu ebiwongerwa Mukama ne zireetebwa mu Ssinzizo, n'ensimbi buli muntu z'agerekerwa okuwa, wamu n'ezo omuntu z'aba yeetemye yekka okuwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaasi n'agamba bakabona nti Effeeza zonna ez'ebintu ebitukuzibwa ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, eziyitaŋŋana, effeeza ez'abantu buli muntu z'awandiikirwa, n'effeeza zonna omuntu yenna ze yettula okuleeta mu nnyumba ya Mukama,