2 Kings 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi n'agamba bakabona nti: “Mukuŋŋaanye ssente zonna eziva mu birabo ebitukuvu ebireetebwa mu Kiggwa ky'Omukama, ssente eziva mu misolo, eziweebwa okutuukiriza obweyamo n'ezo ezitonwa kyeyagalire mu Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’oluvannyuma buli kabona addire ezo z’akuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
zikwasibwenga bakabona, buli kabona ng'akwasibwa ez'abo b'akolamu, bazikozese okuddaabiriza Yeekaalu buli w'eba yeetaaga okudaabirizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
zikwasibwenga bakabona, buli kabona ng'akwasibwa ez'abo b'akolamu, bazikozese okuddaabiriza Essinzizo buli we liba lyetaaga okuddaabirizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bakabona bazitwale ewaabwe, buli muntu ng'aziggya ku abo b'amanyi: kale baliziba ebituli by'ennyumba yonna yonna ekituli gye kinaalabikira.