2 Kings 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kabona azifune ku bamanyi be, azikozese okuddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa buli we ziba zisangiddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri mu esatu egy’obufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okutuusa mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Yowaasi kabaka, bakabona bali tebanaddabiriza nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye n'okutuusa mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu nga Yowaasi ye kabaka, bakabona baali tebannaddaabiriza Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa kabaka Yekoyaasi bakabona nga tebannaziba bituli bya nnyumba.