2 Kings 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno okutuukira ddala ku mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu ogwa kabaka Yowasi bakabona baali tebaddaabirizanga nnyaafa ku Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Yekoyaasi n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, n’ababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olw’okuddaabiriza yeekaalu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Yowaasi n'ayita Yekoyaada kabona ne bakabona abalala n'ababuuza nti Kiki ekibalobera okuddabiriza ennyumba ya Mukama? Naye okuva kati temwongera kuggya feeza ku bantu ne muzisigaza, naye muziweeyo zikozesebwe okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Yowaasi n'ayita Yehoyaada kabona ne bakabona abalala, n'abagamba nti: “Kiki ekibalobera okuddaabiriza Essinzizo? Kale okuva kati temwongera kuggya nsimbi ku bantu ne muzisigaza, naye muziweeyo zikozesebwe okuddaabiriza Essinzizo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Yekoyaasi n'ayita Yekoyaada kabona ne bakabona abalala n'abagamba nti Kiki ekibalobera okuziba ebituli by'ennyumba? kale nno temweyongera kuggya ffeeza ku abo be mumanyi, naye mugisasule olw'ebituli by'ennyumba.