2 Kings 12:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ne bakkiriza obutaddayo kuggya ssente ku bantu era n'obutaba na buvunaanyizibwa obw'okuddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyaada kabona asinga obukulu n’addira essanduuko n’awumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n’agiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi n’ekyoto okuliraana n’awayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yekoyaada kabona n'addira essanduuko ennene n'awummula ekituli mu kisaanikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abaakuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezaaleetebwanga mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoyaada kabona n'addira essanduuko ennene, n'awummula ekituli mu kisaanikira kyayo, n'agiteeka ku mabbali ga alutaari, ku ludda olwa ddyo omuntu ng'ayingira mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yekoyada kabona n'addira ebbweta n'awummula ekituli mu kisnikizo kyayo, n'agiteeka ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olwa ddyo ng'oyingira mu nnyumba ya Mukama: awo bakabona abaakuumanga oluggi ne bateeka omwo effeeza zonna ezleetebwanga mu nnyumba ya Mukama.