2 Kings 13:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu ogwa Yowasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yowakazi mutabani wa Yewu yafuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka kkumi na musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya era n’afugira emyaka kkumi na musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'abiri mu esatu (23) ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu nga Yowaasi mutabani wa Ahaaziya ye kabaka wa Buyudaaya, Yehoyahaazi mutabani wa Yeehu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi na musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu.