2 Kings 13:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowasi kabaka wa Yuda, Yowasi mutabani wa Yowakazi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka kkumi na mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'asatu mu musanvu (37) ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omusanvu nga Yowaasi ye kabaka wa Buyudaaya, Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi na mukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga.