2 Kings 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; teyeewala bibi byonna ebya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu; yayongera kubitambuliramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atalekaayo ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula ne yeeyongera bweyongezi okubikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola naleteera Isiraeri okwonoona: naye n'atambulira omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era naye n'akola ebitasiimibwa Mukama. N'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, era n'atabivaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri: naye n'atambulira omwo.