2 Kings 13:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yowasi na byonna bye yakola, obuzira bwe, n'entalo ze ng'alwanyisa Amaziya kabaka wa Yuda, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, bye yakola byonna, n’amaanyi ge, nga kwe kuli n’olutalo lwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Yehowaasi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira mu kulwanyisa Amaziya kabaka wa Buyudaaya, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?