2 Kings 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa yalwala obulwadde obwamuviiramu n'okufa. Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'agendayo okumulabako, n'amukaabira nga bw'agamba nti: “Kitange! Kitange! Ebigaali n'abeebagazi ba Yisirayeli!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo Erisa n’alwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi n’aserengeta gy’ali okumulaba, n’akaabira amaziga, mu maaso ge ng’agamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'alwala obulwadde obwamuviirako okufa. Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'agenda gy'ali okumulaba. N'amugamba nga bw'akaaba n'amaziga nti Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Isiraeri!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa n'alwala obulwadde obwamuviirako okufa. Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'agenda gy'ali okumulaba. N'amugamba nga bw'akaaba n'amaziga nti: “Kitange, kitange, ggwe ow'amaanyi ng'amagaali n'embalaasi ebitaasa Yisirayeli!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erisa yali alwadde endwadde ye eyamutta: Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'aserengeta gy'ali n'amukaabira amaziga n'ayogera nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'abasajja be abeebagala embalaasi!