2 Kings 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Ggula eddirisa ery'ebuvanjuba.” N'aliggula. Elisa n'amulagira nti: “Lasa akasaale.” N'alasa. Elisa n'agamba nti: “Busaale bwa buwanguzi bw'Omukama, obusaale obuliwangula Aramu. Aramu ojja kumuwangula omusaanyeewo e Afeki.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’amugamba nti, “Ggulawo eddirisa ery’ebuvanjuba,” n’aliggulawo. N’amulagira okulasa. Erisa n’ayogera nti, “Akasaale ka Mukama ak’obuwanguzi, akasaale ak’obuwanguzi eri Obusuuli, era ojja kusaanyizaawo ddala Abasuuli mu Afeki.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'agamba kabaka nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Erisa n'agamba nti Ako ke kasaale akanawangula Obusuuli: Olirwanyisa Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ggulawo eddirisa eritunudde ebuvanjuba.” N'aliggulawo. Awo Elisa n'agamba nti: “Lasa akasaale.” Kabaka n'alasa. Elisa n'agamba nti: “Ako ke kasaale akanaawangula Siriya. Olirwanyisa Abassiriya mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Awo Erisa n'ayogera nti Lasa: n'alasa. N'ayogera nti Akasaale ka Mukama ak'obulokozi, ke kasaale ak'obulokozi eri Obusuuli: kubanga olikuba Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.