2 Kings 13:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu wa Katonda n'amusunguwalira, n'agamba nti: “Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga, olwo Aramu wandimuwangudde okutuusa okumumalirawo ddala; naye kati ojja kumugoba emirundi esatu gyokka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja wa Katonda n’amunyiigira, n’amugamba nti, “Wandirasizza emirundi etaano oba mukaaga, olwo n’olyoka owangulira ddala Abasuuli era n’obasaanyaawo. Naye kaakano olibawangula emirundi esatu gyokka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kaakano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja wa Katonda n'asunguwalira kabaka, n'amugamba nti: “Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga. Olwo wandikubye Abassiriya okutuusa lwe wandibazikirizza! Naye kaakano ojja kubawangula emirundi esatu gyokka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kaakano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka.