2 Kings 13:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama ng'agoberera ebibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu; naye yennyini teyakireka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama ng’akola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri, ate n’atabirekaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona; n'atabivaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'anyiiza Mukama, ng'akola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, n'atava mu bibi ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivaamu.