2 Kings 13:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Elisa n'afa, ne bamuziika. Abanyazi baateranga okuva mu Mowabu ne bajja mu nsi ku buli ntandikwa ya mwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisa n’afa, n’aziikibwa. Ebibinja by’Abamowaabu byateranga okulumba ensi ku ntandikwa ya buli mwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowaabu ne bazindanga ensi omwaka nga gutandika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elisa n'afa, ne bamuziika. Ebibinja by'Abamowaabu byazindanga ensi ya Yisirayeli omwaka nga gutandika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowaabu ne bazindanga ensi omwaka bwe gwayingiranga.