2 Kings 13:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Abayisirayeli baali baziika omuntu, gye baakuba amaaso nga ku kikwanga ky'abanyazi. Ne bakasuka omulambo mu ntaana ya Elisa ne badduka. Omulambo olwakoona ku magumba ga Elisa, omuntu n'addamu obulamu n'ayimirira ku bigere bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka, Abayisirayiri abamu baali baziika omusajja, ne balengera ekibinja eky’abasajja nga kijja, ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa ne badduka. Omulambo gwe bwe gw’akoma ku magumba ga Erisa omusajja n’alamuka, era n’ayimirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwali lumu abamu ku Baisiraeri bwe baali nga baliko omusajja gwe baziika, ne balaba ekimu ku bibinja ebyo nga kijja. Ne basuula omulambo mu ntaana ya Erisa. Omulambo gw'omusajja olwakoona ku magumba ga Erisa, omusajja n'alamuka n'ayimirira ku magulu ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu abamu ku Bayisirayeli bwe baali nga baliko omusajja gwe baziika, ne balaba ekimu ku bibinja ebyo nga kijja. Ne basuula omulambo mu ntaana ya Elisa. Omulambo gw'omusajja olwakoona ku magumba ga Elisa, omusajja n'alamuka, n'ayimirira ku magulu ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baali nga baziika omusajja, kale, laba, ne balaba ekibiina; ne basuula omusajja mu ntaana ya Erisa: awo omusajja nga kyajje akome ku magumba ga Erisa, n'alamuka n'ayimirira n'ebigere.