2 Kings 13:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama n'abajuna, n'abasaasira, n'abasuulira omwoyo olw'okubeera endagaano ye gye yakola ne Yibrayimu Yizaake ne Yakobo; n'okutuusa kati tannayagala kubazikiririza na kubasuulira ddala eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’abakwatirwa ekisa n’abasaasira, era n’assaayo omwoyo gye bali olw’endagaano gye yakola ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nti talibazikiririza ddala. N’okutuusa ku lunaku olwa leero tayagalanga kubazikiriza okuva mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abasaasira n'assaayo omwoyo eri bo, olw'endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu biro ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Mukama n'abakwatirwa ekisa, n'abasaasira. N'akyukira gye bali olw'endagaano gye yakola ne Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu kiseera ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abasaasira n'assaayo omwoyo eri bo, olw'endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu biro ebyo.